as
Irene Namatovu

Kuzaala Kujagaana

Howwe Music App
FREE - On Android Store
View

Song Lyrics

[Verse 1]

Esanyu lyo mukyala bwabanga bufumbo
Kyabanga kibbo ngo dibidda kulujja
Nabazadde kyabatwala nga nekundaku
Bafunne plan afuneyo amutwala
Nazzikuno abawala bafunanga nesenga
Namubilira embeera zobufumbo
Nti wano tokola bwotti, wano kola bwotti
Mwana wattu ebyo byagwawo
Abakakyokano tuzadde mwattu nebirebya
Osanyusizza nyo mwatu tonswazizza
Akalagano bwekatajjakulika
Kogwe kamutwalira abazadde bamulabekko
Yemanga ngo ssera bulala
Vumulo yomusajja omulagatira
Jagaana ng’azaala akuzza
Esanyu lyo mwaana linzitta
Jagaana ng’azaala akuzza
Ouuh! Esanyu lyo mwaana linzitta

(Chorus X2)

Vaayo nzine, vaayo ntyabule
Gun’omukwano gwomuzadde gundi bubi (Kuzaala kujagaana)
Vaayo nzine, vaayo ntyabule
Laba jagaana ng’azaala akuzza (Kuzaala kujagaana)

[Verse 2]

Nekebejja ntya nga sisosse kumanya
Mumaaso Gabeene ekyo kintu kyanono
Nze akuyimbira mudoboozi elyegono
Muzanawo Namatovu Irena
Neddira ngambi akabiro jerengesa
Okumala kali kuntadda
Bwekali kusuula obe ngambi esambaganyi
Okyejuuse onolaba
Nabino ebigambo njagala obitwale
Kukumula amatuggo ngayagala obiwulire
Mwana wange ogenze kufumba
Naye tobeera omufumba kaffu
Anewala amayumba yatema ensoga nsoga
Oyaniriza omumanyi ne gwotamanyi
Ekitibwa kyomukyala zibeera mpiisa
Zokulembezza nga tonakwatagana
Ekitibwa ekyobufumbo gabeera mawunanyo
Era kiwebwa oyo abeera akigwanira
Ono bikwat’ebyo ogenze kufumba
Nebakadebo oba wessa ekitibwa
Anti okuzaala kwekuba okujagaana
Kujagaana jagaana jagaanye

(Chorus X2)

[Verse 3]

Nga bwomanyi omukwano anti bigwa lyatovu
Bikusiwa bwebikujijira
Akamwenyumenyu kano kudabako kutama
Sanyu lya mwanaa..
Ekisulo kyokusanyuka kyasuuze nze kinsuula
Nemanya nti olwo kanabeera ketalo
Ebya kakyokano kufuune oyo akwagala
Nakuleta nembazadde namara namwanjula
Kabeera ketalo, kaba kayisanyo kuba kujagaana
Jagaana ng’azaala akuzza
Esanyu lyo muzadde linzitta
Sirisa engoma nzinemu amateela gwe
Gajja kumenya lekamu namwojoloba
Nzine amangujju oba nganjawuuza
Walalalala lalala
Sirisa engalabi nzinemu amateera gwe
Gajja kumenya yogenza kukun’eyo
Wololo wololo
Esanyu linzita
Vaayo vaayo gwe

(Chorus X2)

---- Adopted from RiftLyrics.net ----
Kagwirawo