as
David Lutalo

Nkwagalira ddala

Song Lyrics

Intro:

David Lutalo

Verse I:

Bebi on'ondekera ye ani
Kuba nnaloose osibye ogenze
Mazima ne nsigala awo nga nkaaba
Nga obimaze ondese onkyaye
Walayidde n'okomba ne ppaasi
Nti bw'olinzirira oliba owenze
Kati nze nnaakikola ntya nga ondese eno ggwe oli eyo
Omukwano gwe nzize ntangirira nga odibaze oyiiyaaawo
Kati ngumya ko bambi
Waakiri honey
Nsuubizaako nti kaabe ani
tolindeka mummy
Onnafuya omutima
Simanyi na bwe nnaakola
Emmere bwe njikoza
N'ennemerera okuluma ehh

Chorus:

Onteekako akamwenyu bebi ssikusaagisa
Nkwagalira ddala
Ofumba n'ojjiisa love n'empoomera
Nkwagalira ddala
Bambi nteresa omutima wabule ekirigutaagula
Nkwagalira ddala
Oh oh oh oh
Nkwagalira ddala

Verse II:

Nze ndibeera bwentyo ppaka
Sirikyusa Bambi totya
Ebyandikuleese amaziga
Byakala bye nnasooka ottema
Love yo y'embunya emiwabo
Enkutte ennyize obulago
Era njagala tutte omukago
Mu kintu twongeremu ebisoko
Kiggumize munnange nti mu bonna walonda nze
Love yo ensingira ssente engonza nnyo endebeza enkembe
Kweggamba mbeera awo bwentyo
nga Siva mu birooto nnyina love nnyingi ppoko
Nyongera ate omukwano tompimira ku kajiiko tokodowala kuba ggwe nsulo
Leka ebirala panga omukwano
Kwata wano eno
Naluka tolowooza nti kyejo
Nfuuwaako mu liiso

Chorus:

Onteekako akamwenyu bebi ssikusaagisa
Nkwagalira ddala
Ofumba n'ojjiisa love n'empoomera
Nkwagalira ddala
Bambi nteresa omutima wabule ekirigutaagula
Nkwagalira ddala
Oh oh oh oh
Nkwagalira ddala

Verse III:

Ayagala ottwaawula apaana
Tuli katungulu na nnyaanya
Talitunula walala yagaana
Ozannya na muliro osaaga
Ffe love ka tugirye nga tennawola
Tubalekerewo obukunkumuka
Nkyakwagala nnyo tebannalumwa
Ku musana ne bw'eriba nkuba
Ono ankekemya ng'obukoko
Ansiisirizaako akazigo
Y'ammagusa nga zzonto
N'anfaananya nga gentle
Sweet potato mango
My tomato bongo
Y'anteredde mu bwongo
Y'ammulisiza kando
Ye all the journey today eh
Omukwano guleete eno
Love entemye omutwe eh
Yeyeye eh eh
Bambi mwenya ndabe eh eh
Omukwano guleete eno
Bambi genda ojjule eheh
yeyeye eh
Eh eh
Eh
Eh eh
Yeyeyeye

Leave a comment